Joshua 21

Ebibuga by’Abaleevi

1 aAwo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri 2 be Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu era n’amalundiro g’ebisibo byaffe.”

3Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino n’amalundiro nga gwe mugabo gwabwe.

4 cAkalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.
5 dAbakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
6 eN’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani.
7 fAbaana ba Merali ne baweebwa ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni.

8Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.

9Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino: 10bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.
11 gNe babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde. 12Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe. 13 hAbantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo, 14 ine Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo, 15 jne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo, 16 kne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.
17 lNe mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba 18ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.

19Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.

20Eri Abakokasi
Abakokasi Tebaali bakabona kubanga tebaali bazzukulu ba Alooni.
abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu.
21 nN’aweebwa Sekemu n’amalundiro gaakyo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ekibuga eky’okwekwekamu oyo asse, ne Gezeri n’amalundiro gaakyo, 22 one Kizuzaimu n’amalundiro gaakyo ne Besukolooni n’amalundiro gaakyo,
23ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo, 24 pAyalooni n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
25Ne mu kitundu eky’ekika kya Manase, Taanaki, n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri.
26Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo.

27 qN’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi,
ekitundu eky’ekika kya Manase, Golani mu Basani n’amalundiro gaakyo, ekibuga eky’okwekwekangamu oyo asse nga tagenderedde, ne Beesutera n’amalundiro gaakyo, ebibuga bibiri.
28 rNe mu kika kya Isakaali,
Kisioni n’amalundiro gaakyo, Daberasi n’amalundiro gaakyo,
29Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Engannimu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina,
30 sne mu kika kya Aseri,
Misali n’amalundiro gaakyo, Abudoni n’amalundiro gaakyo,
31Kerukasi n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
32 tNe mu kika kya Nafutaali,
Kadesi mu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo, ebibuga ebyokwekwekamu, ne Kammasudoli n’amalundiro gaakyo, ne Kalutani n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bisatu.
33 uEbibuga byonna eby’Abagerusoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.

34 vAbaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa
okuva mu kika kya Zebbulooni,
Yokuneamu n’amalundiro gaakyo, ne Kaluta n’amalundiro gaakyo,
35Dimuna n’amalundiro gaakyo, Nakalali n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
36 wNe mu kika kya Lewubeeni,
Bezeri n’amalundiro gaakyo, ne Yakazi n’amalundiro gaakyo,
37Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
38 xNe mu kika kya Gaadi,
Lamosi mu Gireyaali n’amalundiro gaakyo, ekibuga ekyokwekwekamu oyo asse, ne Makanayimu n’amalundiro gaakyo.
39Kesuboni n’amalundiro gaakyo, Yazeri n’amalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina.

40Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.

41 yEbibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye. 42Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali.

43 zBw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo. 44 aaMukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe. 45 abBuli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.

Copyright information for LugEEEE